09/16/10 - Beeyamye okuwagira enteekateeka za Kabaka
OLUKIIKO lw’Abaganda Ttabamiruka 2010, olwabadde mu Amerika lwayisizza ebiteeso 10 ebiwagira enteekateeka za Kabaka ne Gavumenti ye okukulaakulanya Buganda. Olukiiko olwatudde mu Hilton Hotel, East Brunswick mu kibuga New Jersey lwagguddwawo Kabaka eyakiikiriddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro Emmanuel Ssendaula.
Ebiteeso ebyayisiddwa byassiddwako omukono pulezidenti wa Ggwanga mujje NY/NJ Sullyiman Bunkeddeko ne Ssentebe wa Ttabamiruka, Edward Ssembatya. Beeyamye okubeera aba-wulize eri Kabaka n’okukuuma Namulondo. Ne basiima obubaka bwa Ssaabasajja bwe yabaweerezza.
Baagambye bajja kukola kye basobola okuggya Buganda mu mbeera gy’erimu nga bayita mu kye baayise okukozesa amagezi n’okuba abazira. Ku Masiro g’e Kasubi, beeyamye okwekolamu omu-limu n’okukunga Obuganda okuzzaawo Amasiro.
Baalaze okunyolwa olw’abantu abaafiira mu Masiro n’abo abaalumizibwa mu kavuvung’ano akaaliwo oluvannyuma lw’Amasiro okuggya. Baawagidde enteekateeka za Muteesa I Royal University ne bassaawo akakiiko ak’enjawulo okukola ku nsonga z’okuzimba ebisulo bya yunivasite eyo.
Okwo baagasseeko okweyama okuwagira emirimu egikolebwa Obwakabaka bwa Buganda nga bawaayo ensimbi. Baasabye Katikkiro ategeke ensolooza y’omusolo ogwa kyeyagalire, ng’entegeka eyo ekolera mu musana (Transparent, Accountable and Cashless). Omuganda yenna mu nsi yonna asobole okuwa omusolo guno ng’afunirawo obukakafu nti ensimbi zituuse mu ggwanika lya Buganda.
Kabaka mu bubaka bwe yakubirizza abantu ba Buganda okulemera ku nsonga z’Obwakabaka ate bwe basanga ebizibu mu kulwa-nirira ebintu byabwe, babira-be ng’amayengo agatawaanya amazzi g’ennyanja nti kuba ekiseera kituuka ne gakka.
Source: Bukedde, article written by Lilian Nalubega, Thursday, September 16, 2010
Ttabamiruka® is a registered trademark of Ggwangamujje NY/NJ, Inc. in the United States of America. Its use and republication without prior permission is strictly prohibited.