Tweyamye era tukkakasa Ssaabasajja Kabaka nti tujja kukola n'obumalirivu nga ga twekunga ng'Obuganda okuzaawo Amasiro Bassekabaka mu nteekateeka etereddwawo Obwakabaka.
Tuvvumiriridde nessekuvvumirira yenna ebikolwa by'abasirikale ba gavumenti ya Uganda, olw'okutta n'okulumya abantu abalala bangi abatalina musango mu Masiro e Kasubi.
Tuwagira enteekateeka za Muteesa I Royal University era tutaddewo Akakiiko ak'enjawulo okukola ku nsonga z'okuzimba ebisulo bya Muteesa I Royal University.
Tweyamye okuwagira emirimu gya Ssaabasajja Kabaka mu nsimbi abakungu bakole nga tebajulira.
Tweyama okuwagira emirimu gya gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka gyetuwulidde okuva mu bakungu abatuwerezeddwa abakulembeddwa Omumyuka wa Katikkiro Asooka. Emirimu egyo gituwadde amaanyi naddala egya Muteesa I Royal University ne Buganda Land Board.
Tusaba Katikkiro ategeke ensoloza y'omusolo ogw'ekyeyagalire, ng'entegeka eyo ekolera mu musana ogutaliko kamogo. (Transparent, Accountable and Cashless). Omuganda munsi yonna asobole okuwa omusolo guno ngafunirawo obukakafu nti ensimbi zituuse mu Gwanika Lya Buganda.
Click here to download a copy of the Conference Resolutions.
Ttabamiruka® is a registered trademark of Ggwangamujje NY/NJ, Inc. in the United States of America. Its use and republication without prior permission is strictly prohibited.